1 Samuel 7:1-2

1 aAwo abantu b’e Kiriyasuyalimu ne bajja ne baddukira essanduuko ya Mukama, ne bagitwala mu nnyumba ya Abinadaabu ku lusozi. Ne bayawula Eriyazaali mutabani we okuvunaanyizibwa essanduuko ya Mukama
Essanduuko ya Mukama yasigalayo okutuusa Dawudi lwe yagizzaayo e Yerusaalemi (2Sa 6:2-3)
.

Abafirisuuti Bawangulwa e Mizupa

2Essanduuko n’emala mu Kiriyasuyalimu ebbanga ddene, eryawerera ddala emyaka amakumi abiri, era abantu b’ennyumba ya Isirayiri bonna baali banakuwavu era nga banoonya Mukama.
Copyright information for LugEEEE